Munnakisinde kya Go Forward Amama Mbabazi olwaleero kampeyini azileese wano mu Kampala nga era asookedde Kamwokya.
Kati Mbabazi ayolekedde mu bitundu bye luzira gy’agenda okukuba olukungaana.
Nga avudde e Luzira, Mbabazi wakugenda e Bugoloobi, ayitire e Namuwongo, Kibuli ku Total n’ewalala.
Oluvanyuma wakukuba olukungaana e Kikubamutwe akube olulala ku Gaba Road oluvanyuma ayolekere e Munyonyo ne Katwe.
Wakukuba enkungaana ze ezisembayo wali e Katwe ne Mengo social centre.