Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba Kasule ategezezza nga Mbabazi bw’alina okusoka okwewandiisa nga tannetaba mu kamyufu ka kibiina.
Nga ayogerera ku NTV amakya galeero, Kasule ategezezza nga Mbabazi bw’ali ow’eddembe okuvuganya ku kifo kyonna mu kibiina kasita asooka okwewandiisa nga munnakibiina.
Lumumba agamba ekibiina kibadde kilongoosa enkalala zaakyo kale nga era enkalala zino zezijja okugobererwa singa omuntu yenna ayagala okwesimbawo ku kifo kyonna mu kibiina kyabwe.
Mbabazi ategezezza nga bw’agenda okuvuganya ku kifo ky’okukwatira NRM bendera okwesimbawo ku bwa pulezidenti.
Mungeri yeemu Mbabazi ategezezza nga bw’ajja okuyita olukungaana lwabannamwulire amangu ddala okwongera okutangaaza ku by’okwesimbawo ku bwa pulezidenti .
Bino Mbabazi abyogedde afuluma mu maka ge oluvanyuma lw’abaserikale ba poliisi 2 okukeera okugumba kumpi n’amaka ge e Kololo.
Abaserikale bano babadde mu ngoye zabulijjo nga era babadde batambulira ku pikipiki .
Omuyambi wa Mbabazi ategerekese nga Obed Taremwa alagidde abaserikale bano okwamuka amaka ga mukamawe nebagaana.
.Mbabazi alangiriridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwa pulezidenti omwaka ogujja nga era wakuvuganya eyali mukamawe pulezidenti Museveni.
Mu katambi k’awerezza ku mukutu gwa You Tube, Mbabazi ategezezza nga bw’ayagala okulaba nga Uganda etuukagana n’omulembe gw’ekyaasa 21 ssaako n’okufuba okulaba nga enfuga y’amateeka edda mu ggwanga.
Mbabazi agamba ebyenjigiriza wamu n’ebyobulamu bw’eggwanga bisaanye okulongosebwa n’empereza mu mirimu emirala.