Skip to content Skip to footer

Mbabazi yejjeredde

Mbabazi

Ssabaminista wa Uganda Amama Mbabazi yejjerezeddwa ku ky’okubwebwena ensimbi z’okuzza obuggya obukiikakkono bw’eggwanga

Kiddiridde ababaka mu palamenti okumuwemukira nga bagala alekulire oluvanyuma lwa alipoota eyakoleddwa omubaka Joseph Sewungu okulaga nti yakozesa bubi ensimbi zino

ono bamulanze kwegulira mmotoka etunula ng’omuntu ng’abantu beyalina okuwereeza bali bubi

Akawungeezi ka leero ababaka basazeewo okulonda okulaba abo abawagira nti alekulire era okukkakkana ng’ababaka 51 bawakanyizza eky’okumugoba, 17 bakiwagidde ate 10 tebalonze

Leave a comment

0.0/5