Skip to content Skip to footer

Mbuga ajjiddwaako emisango

Kkooti e Makindye ejjeewo emisango egibadde givunaanibwa omusuubuzi w’erinnya SK Mbuga nga gino gyakukuba mukyala we Leilah Kayondo.

Omulamuzi Richard Mafaabi agambye nti akizudde abagaalana bano baategeragana nga tewakyaali kwemulugunya kwonna.

Omulamuzi agambye nti mulimu gwa kkooti okutumbula enkolagana wakati w’abantu ababa batakwatagana mu kifo ky’okuzitankuula nga y’ensonga lwaki bamujjeeko emisango.

Mafabi agambye gwebaakuba yenyini yakola ekiwandiiko ng’asazaamu emisango gyeyali agudde ku Mbuga kale nga nabo ate baali tebasobola kugisigalamu.

Mbuga yakwatibwa n’avunaanibwa oluvanyuma lw’okukuba Kayondo nga bafunye obutakkaanya

Leave a comment

0.0/5