
Omugagga w’omukibuga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyiddwa enyo nga SK. Mbuga atuusiddwa ku kkooti ye Makindye.
Mbuga avunanibwa kutulugunya muganzi we omuyimbi Liela Kayondo eyamuggulako omuisango wabula oluvanyuma n’agyayo omusango nga agamba baategeraganye.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga olunaku lweggulo y’ategezezza nga omusango guno bwegwokugenda mu maaso kubanga tebanakakasa oba Kayondo teyakoze sitetimenti nga bamusindikiriza.