Gavumenti kyaddaaki eyanjizza etteeka erijjako bannakampala obuyinza okulonda loodimeeya.
Okusinziira ku bbago lino, kati loodimeeya wakulondebwa mu ba kansala okuva mu divizoni ettaano ezikola Kampala.
Mu ngeri yeemu ebbago ssinga liyita, KCCA ejja kuba eyongeddwa amaanyi okuddukanya ekibuga nga teyekikiddwaamu bannabyabufuzi
Etteeka lino era likendeeza obuyinza bwa loodimeeya ng’okusinga ajja kuba wa mikolo
Ebbago lino lyanjiddwa ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi ku lwa minisita wa kampala Frank Tumwebaze
Omubaka we Kawempe mu bukiikakkono Latif Ssebaggala yoomu ku basimbidde ekkuuli ebbago lino nga bagamba nti minisita Ruhindi tabadde na buyinza bubeerawo ku lwa Tumwebaze
Ono era agambye nti kikyaamu okujjako abantu obuyinza nga balina okwerondera abakulembeze.