LUGOGO
Omutendesi wa tiimu ye gwanga, coach Micho Sredojevic munnnsi we gwanga lya Serbia, alangiridde nga bagenda okulekulira omulimu, ngasubiza nti agenda kutekayo ebbaluwa ye erekuira mu ssaawa 48.
Bino abyogedde akawungeezi akayise, oluvanyuma lwomupiira tiimu ye gwanga mwekubidde South Sudan goal 5-1 mu mpaka zokusunulamu abanetaba muza Chan omwak aogujja, omupiira ogubadde ku kisaawe kya Star Times e Lugogo mu Kampala.
Ategezezza nti abatwala omupiira mu Uganda bamudibaze nokumutyoboola okumala ebbanga.
Micho agambye nti essaawa yonna agenda kutuuza bannamwulire alubaviire ku ntono.
Wabula guno ssi gwemulundi ogusoose ngono yecwacwana ne bakama be abatwala omupiira mu Uganda aba FUFA.
Kinajjukirwa, noluvanyuma lwa Uganda okuytawo okugnda mu mpaka za Africa, ezomwaka guno Micho yayogera ebikankana ne Presidenti wa FUFA Eng. Moses Magogo, k misaala gye egyali gitanasasulwa.
Micho ayogerwako yafuna omulimu guno ngomutendesi wa teama ye gwanga mu mwezi ogwokutaano mu mwaka gwa 2013 okuva ku munnasi wa Scotland Bobby Williamson.
