Skip to content Skip to footer

Omukozi eyatulugunya omwana bulijjo akikola

Tortured baby

Poliisi ezudde ebipya ku mukozi eyakwatibwa ku katambi ng’atulugunya bebi ow’omwaka ogumu n’ekitundu

Kizuulidde nti Jolly Tumuhiirwe tayasooka kutulugunya mwana eyalabikira ku katambi.

Ebifulumiziddwa biraga nti omuwala ono era negyeyava yaleka atulugunyizza abaana ba mukama we nga bano yabassa nga mu nkuba n’ebagweerako.

Akulira bambega ba poliisi Grace Akullo agamba nti bagenda kukebera omuwala ono okulaba oba aliko obuzibu

Akatambi akalaga omuwala ono ng’atulugunya ebbujje kaaleka bangi basanyaladde.

Leave a comment

0.0/5