Skip to content Skip to footer

Mirundi bamuweze ku mpewo

File Photo: Tamale Mirundi nga yogeera ku simu
File Photo: Tamale Mirundi nga yogeera ku simu

Akakiiko akafuga ebigenda ku mpewo kayimirizza munnamawulire wa gavumenti Tamale Mirundi okuddamu okwogerera ku mikutu gy’amawulire

Ebbaluwa evudde mu kakiiko kano eraga nti Tamale Mirundi ayitirizza okulumba abantu ng’akozesa emikutu gy’amawulire nga tebaggya kumukkiriza kusigala ng’akikola

Akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agamba nti Tamale tajja kudda ku mpewo okutuuka nga yezzeemu.

Wabula bwetukubidde Tamale Mirundi atugambye nti abayisizza ekiragiro kino basaaga.

Leave a comment

0.0/5