Monitor Yakukola enkyukyakyuka mu bakozi.
Abakulira kampuni ya Monitor Publications Ltd batandise enkyukakyuka okulaba nga bongera okuweereza bulungi bakasitooma n’okwongera okuyingiza ensimbi.
Ssenkulu wa Kampuni eno Tony Glencross ategezezza nti mu nsi eno ekyukakyuka kampuni yakukwata ekkubo lya Digital nga bingi bikolebwa ku mutimbagano gwa yintaneti naddala amawulire.
Wabula olw’enkyukakyuka zino abamu ku bakozi bakufiirwa emirimu gyabwe era emirimu egimu gitagibwe nga gikolebwa omuntu omu.
Emirimu gyakukyukamu mu bakozi b’olupapula olwa Monitor, aba Radio okuli Dembe ne KFM n’abalala.
Abakozi abanaaba bakoseddwa bakusooka kubudabudibwa mu nteekateeka yonna.