
Wowulirira bino ng’okulonda omukulembeze w’eggwanga kukyagendera ddala mu maaso mu ggwanga lya Burundi.
Okulonda kuno kugyidde wakati mu bunkenke obw’ekitalo nga era wawuliddwaayo okubwatuuka kwa bbomu mu kibuga ekikulu ekya Bujumbura.
Omukulembeze w’eggwanga lino Pierre Nkurunziza ayagala kisanja kirala wakati mu kuwakanyizibwa okuva eri abamuwakanya ekyavaako n’obwegungo omwafiira abantu abasoba mu 70.