Bya Moses Ndaye,
Amyuka Ssentebe wekibiina kya NRM mu bitundu ebyóbuvanjuba bwe ggwanga Captain Mike Mukula awakanyiza ekiteeso ekyokwongezaaayo okulonda kwomwaka ogujja
Olunaku lweggulo sentebe wa kakiiko omwegatira abakiririza mu yesu aka Joint Christian council Dr.Cyprian Kizito Lwanga yasabye gavt eyongezeyo okulonda nga agamba nti embeera ye kirwadde ekya covid-19 esooke ekakane
Wabula Mukula agamba nti ekyokwongezayo okulonda kuno kizibu kuba gavt etademu ensimbi mpitirivu mu ntekateka yonna
Wano wasabidde bannauganda okwetanira okugondera ebiragiro ebyayisibwa mu kutangira ekirwadde obulamu bugende mu maaso