Bya Ivan Ssenabulya,
Ekibiina omwegatira abayimbi mu ggwanga ki Uganda Musicians Association kisabye kinakyo ekya Uganda Performing Rights Society, okudukirira ku bayimbi abali obubi mu kaseera kano akomuggalo
Kino kidiridde abayimbi okubeera mu muggalo ogwe myezi 9 bukya pulezidenti ya bagala mu mwezi ogwokusatu oluvanyuma lwokubalukawo kwe kirwadde kya covid-19
Ssabawandiisi wékibiina kino Phina Mugerwa aka Masanyalaze, agamba nti okusomozebwa okwebyenfuna abayimbi kwe batubidemu ku bayinze songa enyimba zaabwe zasigala zikubwa ku ma TV ne ku Leediyo
Ono mungeri yemu azzeemu nasaba gavt okulowooza ku kyokubagulawo kuba tebali bulungi.