Minisitule y’ebyenjigiriza ewereddwa amagezi okwongera amaanyi mu kitongole ekirambula amasomero.
Mu kiseera kino minisitule eteeka ensimbi obuwumbi obusoba 2 mu kulambula amasomero kyoka abamu bagamba nti ensimbi zino ntono nyo.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers Union James Tweheyo agambye nti olw’ensimbi entono ministry z’eteeka mu kulambula amasomero, district ezimu ezirina amasomero agakola obubi, tezifuna balambuzi b’amasomero.
Tweheyo era agambye nti n’abazadde wamu n’abakulembeze mu bitundu omuli amasomero balina okusitukiramu okulambula wamu n’okulondoola engeri amasomero gano gyegadukanyizibwa.