Bya Ruth Anderah
Omusajja ow’emyaka 37 eyasobya ku baana ab’obuwala babiri abatanetuuka asibiddwa emyaka munaana.
Kasozi Edward nga mutuuze we Kawempe mu Kampala asibiddwa omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Joseph Murangira oluvanyuma lwekwekenenya obujulizi obwaletebwa oludda oluwaabi nakizula nti ddala omusajja ono mulya buto.
Kkooti ekizudde nti abaana bano omu yali wa myaka 6 ate omulala myaka 8 era nga yabasobyako mu September wa 2011 mu Nabukalu zone Kawempe Division.
Kigambibwa nti mulya buto ono, abaana yasanga bazanya mumaka gabazadde wabwe nabayita nabatwala mu kiyumba ekitanaggwa mweyababikulira embugo.
Omusajja ono yasoka kusobya kwomu nga n’omulala alaba, bweyamala nadda ku mulala.