Skip to content Skip to footer

Mulyagonja alondeddwa mu kulwanyisa enguzi mu Africa

Bya Benjamin Jumbe

Kaliisoliiso wa gavumenti Irene Mulyagonja alondebwa okulembera akakiiko akalwanyisa obulyake mu mawanga agali muluse ne bungereza

Bino byabadde mu kugalawo olukungana lw’abakulira ebitongole ebirwanyisa enguzi mu mawanga ga Africa

Mulyagonja yasikidde Ibrahim Mustafa owe Nigeria nga abadde mu kifo kino okumala ebbanga lya mwaka gumu. Era naye wakuwaayo e entebe eri anaamudira mu bigere mu lukungana olunayindira mu ggwanga lya Rwanda omwaka ogujja.

Mulyagonja aweze nga bwagenda okufuba okulaba nti obuli bwenguzi mu Africa bufuuka lufumo.

 

Leave a comment

0.0/5