Skip to content Skip to footer

Akakiiko mu kutuuza omusumba Jjumba kalondeddwa

 

Bya Prossy Kisakye

Omusumba w’essazza lye masaka eyawummudde john Baptist Kaggwa alonze akakiiko akagenda okutekateeka okutuuza omusumba omupya severus Jumba ku ntebe ng’omukungu Freeman Kiyimba ye Ssentebe waako.

Gye buvuddeko Paapa francis yasiima n’awummuza omuwerezaawe Bishop kaggwa ow’e masaka oluvanyuma lw’okuwereza eKelezia emyaka 24.

Mu kutongoza akakiiko kano mu kampala Omusumba kaggwa yategezezza nga webetaaga ensimbi eziwera obukadde 400 nga zino zezirina okusondebwa okusobola okudukanya omukolo guno.

Omukolo gw’okutuuza omusumba Jjumba gugenda kuberaawo nga 6th july 2019 kyokka nga kakiiko akategeka omukolo guno kagenda kusooka kubeera n’omukolo gw’okusonda ensimbi ku imperial royale nga 6th/6/ 2019.

Leave a comment

0.0/5