Skip to content Skip to footer

Munamateeka awabudde ku bwananyini bw’etaka.

Bya Ritah Kemigisa.

Government ya Uganda esabiddwa okutwala akadde yeetegereze obwananyini kutaka mubuli kitundu olwo lwenaafuna engeri  gyegagenda okugonjoolamu enkayana kutaka.

Bwabade eyogerere mu lukungana olw’okukubaganya ebirowozo kwebyo ebyakatuukibwako mu kunonyereza kwakakiiko kebyetaka, Munamateeka Peter Mulira  agambye nti government obutamanya bwananyini kutaka, ko n’enjawuka okusinziira ku byafaayo kwekuvudde emitawaana.

Ono agamba nti newankubadde akakiiko kano kakoze kinene okuzuula awava emivuyo, naye keetaga okumanya entandikwa yabyona naddala ebyafaayo.

 

Leave a comment

0.0/5