Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ye Lugazi eriko munamateeka, gwegalidde, Kayondo David oluvanyuma lwokugezaako okuwa omusirikale waabwe ekyoja mumiro.
Poliisi egamba nti omukwate nga munamateeka wa Alex Mbayo, eyali avunanibwa okutemula muwala we owemyezi 5 Nabatanzi Florence, yagezaako okuwa OC we Buikwe Namukasa Prossie emitwalo 20, wabula nazigaana.
Munamateeka nga yali yayimbulwa ku kakalu ka poliisi omwaka oguwedde, azeemu nakwatibwa ku biragiro bya ssabawaabi wa gavumenti, ngasubirwa okulabikako mu kooti olwaleero.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Ssezibwa Hellen Butoto, agambye nti Mbayo Alex owemyaka 21 yayimbulwa, oluvanyuma lwalipoota zabasawo, obutakakasa ebyali beyogerwa mukyala we Gift Babiry nti aliko byeywa omwana ebyali byefanayiriza amata, oluvanyuma nafa.
Bino byali ku kyalo Nanziwanga e Nkonkonjeru omwaka oguwedde.