Minisita w’emirimu n’ebyenguudo John Byabagambi asuubizza okuwagira akakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo.
Nga atongoza emirimu gy’akakiiko kano , Byabagambi asabye abatuula ku kakiiko kano okwetongola mu mirimu gyabwe era bagikole mu bwerufu.
Akakiiko kano ak’abantu 5 katandise leero egyako nga katandikidde ku ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti akawadde byeyazuula ku mivuyo ku luguudo lwe Katosi.
Kati bano bakuddamu okutuula batunule mu nsonga z;abantu ababanja okuliyirirwa enguudo empya gyezizimbiddwa.
Akakiiko kano kakulemberwamu Catherine Bamugemerrire nga y’alondebwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni omwezi oguwedde nga era baakuvaayo ne alipoota mu naku 90 zokka.