Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni nomukulembeze we gwanga lya Zanzibar eyagenyiwadde kuno, Abeid Karume balaze obwetaavu eri abakulembeze bamwanga ga Africa okugabana ebirowoozo kungeri yokugonjolamu enjawukana
Bino webijidde ngokulwanagana mu mawanga nga DRC, South Sudan namalala kuvuddeko, banatu bangi okusigala nga babundabunda.
Bwebabadde balangirira olukungaana lwemirimbe olwa global peace leadership conference olunabaawo mu mwezi gwomunaana omwaka guno, mu maka gobwa presidenti Entebbe, President Museveni agambye nti kikulu nnyuo okutula awamu, okusala entottyo ku bizibu byokwerumaruma okutaggwa.
Byonna byayogedde ne munne president Karume awagidde
Wano era batongozza mobile App ne website, kiyite ekitimba okunatambulira olukungaana luno.
Olukungaana luno olwe nnaku ebbiri lwakutandika nga 1 okutuuka nga 2 mu August 2018 mu Kampala.