Skip to content Skip to footer

Museveni alabudde abalamuzi kunguzi

Bya Juliet Nalwooga,

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alabudde abalamuzi ku kulya enguzi, ngagambye nti obulamuzi ssi ky’amaguzi oba kya ttunzi ekiri ku katale.

Bwabadde aggulawo omwaka gwamateeka, omukolo ogubadde mu Kampala, Pulezidenti Museveni abakuutidde nti bongere okubeera ebeerufu mu mirimu gyabwe.

Wabula agambye nti musanyufu okuba nti okwongera amaanyi mu ssiga eddamuzi bye bimu kubiri ku mwanjo ebituunulidwa.

Ate Ssabalamuzi we gwanga Alfonse Owiny-Dollo alajana olwabakozi abatono era abatasobozesa mirimu kugenda mu maaso, mu ssiga eddamuzi.

Ssabalamuzi agambye nti abakozi baalina babasobozesa kutuuka ku bantu 47% bokka.

Dollo anyonyodde nti abalamuzi 377 tebasobola kukola ku banna-Uganda obukadde 45.

Mu ntekateeka ze agambye nti ayagala distulikiti zonna 146, ziberemu omulamuzi ku ddaala erya Grade one Magistrate obutalwiyisa misango.

Leave a comment

0.0/5