Bya Ivan Ssenabulya, Disitulikiti kaadi we Mukono Sheikh Shazir Lumala asabye omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asonyiwe are ayimbule abasibe bonna abali mu makomera.
Amusabye nti kino kinaaba kirungi eri eggwanga naddala mu kiseera kino eky’ekisiibo.
Obubaka buno yabuweredde mu kusaala Jumah ku Masjid Atiiq, omuzikiti omukulu e Mukono.