Skip to content Skip to footer

Museveni awadde ab’ekalungu obukadde 100

ssenteOmukulembeze wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni awadde district y’eKalungu Obukadde bw’ensimbi 100 basobole okuzimba ekitebe kya district.

 

Ssentebe wa district eno Richard Kyabaggu yaayanjizza ensimbi zino naagamba nti ng’omukulembeze musanyufu okulaba nti bagenda kufuna ebizimbe byabwe olwensonga nti Buganda ebasaba ensimbi nnyingi ez’omwezi.

 

Akulira abakozi ku district y’eKalungu Davis Beyeza Dembe agamba ensimbi ezibaweereddwa zaakubayambako kinene era naasubiza okusaamu amaanyi okusonda ensimbi endala okuyambako okuddukanya omulimu guno

 

Abakozi babadde bakolera mu bizimbe bya Buganda okuva district weyakutulwa ku Masaka mu mwaka gwa 2010.

Leave a comment

0.0/5