Bya Benjamin Jumbe
President Yoweri Museveni avuddemu omwasi ku byomujaasi eyawumula Maj General Matayo Kyaligonza bwategezezza nga bwagenda okuvunaanibwa mu mateeka.
Kino kiddiridde palamenti okuyissa ekiteeso ekimujjamu obwesige ku kifo kyomubaka wa Uganda mu gwanga lya Burundi.
Kino kyaddirira akatambi akaasasaana nekalaga ngono nabakuumi be bakuba omusirikale wa poliisi yebidduka, wali e Seeta Mukono.
Ono abadde mu lukugaana lwaba minista abekitunduu kya Great Lakes Region.