Bya Shamim Nateebwa
Eddwaliro ekkulu erijanjaba obulwadde bwa kokolo e Mulago erya Uganda Cancer Institute, liri mu kattu ng’ebiwandiiko byekyuma ekikadde ekikalirira abalwadde ba Kokolo tebirabikako.
Abakulu babadde mu ntekateeka z’akukizaayo gyekyagulibwa okufunamu ekipya oba okukitereeza wabula abakulu bakanze kwekebejja biwandiiko, nga tebabiraba.
Abakulu mu ddwaliro lino bagamba nti ekyuma kya Radiotherapy Machine Cobalt 60, kigula buwanana bwanismbi, nga baakigula kuva mu gwanga lya China mu mwaka gwa 1995.
Kinajjukirwa nti ekyuma kino kyafa mu mwaka gwa 2016, egwanga nerigwamu ensasagge ngabalwadde, ba kokolo tebalina waakujanjabirwa, abamu nebatwalibwa mu Kenya mu ddwaliro lya Aga Khan okukalirirwa.
Kati ekyuma kino kimaze ebbanga lya mwaka mulamba nga kitudde tewali kyekikola, kyebavudde basalwo okukizaayo.
Akakiiko akalambika ebyuma ebikozesa amaanyi ga nuclear aka Atomic energy council mu Uganda, Deogracius Luwalira agamba nti Uganda terinawo kifo webayinza kwononera kyuma kibadde kikozesa maanyi ga Nuclear nga balina aokukizaayo
Wabula bbo abatwala eddwaliro lino ensonga bwebatukiriddwa okubaako kyebatangaaza babyesambye.