Bya Benjamin Jumbene Prossy Kisakye,
Omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni alabudde bannauganda okwewala obuvuyo
Mu kwogerako eri eggwanga nga asinzira ku mikolo egya mmenunula egyomulundi ogwa 35 egikwatiddwa mu makage e Entebbe, Museveni AGAMBYE NTI gavt tegenda kugnya muntu yenna kutiisatiisa bannauganda yadde okuleetawo embeera eya kavuyo.
Akinoganyiza nti omuntu yenna anagezako okuleta esagaliko wakwejusa ekyamuzaza
Mungeri yemu museveni avumiridde ebyobufuzi ebyerimbisemu obusosoze mu mawanga nagamba nti tebirina gye bitwala ggwanga ne Africa yonna
Ekibiina kye by’obufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party kigamba nti olunaku lwammenunula ga Uganda terukyalimu nsa bannauganda okulukuza wakati mu mbeera ye byenfuna ne mbeera za bantu embi mwe bawangalira
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi we kibiina kya DP Okoler Opio Lo Amanu agambye nti emikolo gyámmenunula wano mu ggwanga gyafuuka gyabalondemu abólubatu ate nga be balina ku kasente olwo abangi ate abankuseere bbo tebalina kya kugyaguza wakati mubwavu, ebbula lye mirimu, efuga mbi ne birala
Wano wasabidde gavt okwekuba mu kifuba eddeyo ku mulamwa ogwatwaza NRA munsiko mu mwaka gwa 1980
Ammenunula gomulundi guno gakuziddwa wansi womulamwa ogugamba nti “okujaguza emyaka gya NRM 35 nga bwetukuuma ne biseera byaffe ebyomu maaso
