Bya Magembe Ssabiiti ne Abubaker Kirunda,
Akulira okulonda mu district ye Mubende Kunihira Christine alangiridde Eng Innocent Ssekiziyivu ku kifo kya mayor wa Mubende municipality ng’ono afunye obululu 5786 nadirirwa Natigo Geoffrey afunye obululu 5196.
Eng Ssekiziyivu atubulidde nga essira bwagenda okuliteka mu kulakulanya ekibuga omuli okukola enguudo, okuyoola kasasiro, okutumbula eby’obulamu ne byenjigiriza saako okusikiriza bamusiga nsimbi okutandiikawo amakolero mu kibuga.
Mubende municipality yatondebwawo mwaka gwa 2016 nga etude ku bunene bwa square KM 450 nga elina obungi bwa bantu obusoba mitwalo 30 .
mungeri yemu atwala ebyokulonda mu kibuga kye Jinja, Jennifer Kyobutungi alangiridde munna NRM Ashraf Nasser ngómuwanguzi ku bwa Meeya mu Jinja South division.
ono afunye obululu 6,910ate munna NUP Muhamad Musisi afunye 4,937.