Skip to content Skip to footer

Museveni waakusimibwa olw’okulwanirira emirembe.

Bya Ritah Kemigisa.

 

 

Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni agenda okuweebwa ekirabo ekimusiima olw’okulwanirira emirembe mu Africa yonna nga guno omukolo gwakubaawo mu lukungana olw’emirembe  olwa Global Peace Leadership conference olunabeera wano e Munyonyo.

Luno olukungana lwakubaawo nga  1st to 2nd August, era nga minister akola ku nsonga z’abakozi ba government Muruli Mukasa agambye nti kino ekirabo omukulembeze we gwannga kimugwana kubanga alabiddwa mubuli kasonda ka Africa nga alwanirira emirembe.

Ono agambye nti olukungana luno lwakusalira wamu amagezi kubutya emirembe bwegiyinza okufunika mu mawanga ga Africa.

Olukungana luno lwakubaamu abakulu abalala okuli  president wa Kenya Uhuru Kenyatta n’owa south Sudan Salva Kirr.

 

Leave a comment

0.0/5