Bya Moses Kyeyune
Minister owensonga zomunda amu gwanga Rtd. Gen Jeje Odongo ategezezza palamenti eggulo lino, nti ebyalabikidde ku mikuttu gya social media nga balaliika obulumbaganyi ku bantu, bwali bulimba.
Kino kyadirira omubaka wa munisipaali ye Gulu Lyandro Komakech okwemulugunya, nokulaga aokutya olwokulabula okwakolebwa nti nga July 17, wakubaawo obulumbaganyi.
Gen Adongo agambye nti kuno kwalai kutisatiisa kwennyini nga bulimba, ngategezeza nti tni ebyokwerinda bye gwanga biri gulugulu, awatali ayainza okubiyuuza.
Wabula munegri yeemu gavumenti egambye nti omusawo muna-Uganda akolera mu Australia Dr Aggrey Kiyingi yali emabega wokutisatiisa kuno.
Bino byebijidde mu kiwandiiko ekyawamu, okuva mu ba minister abavunyizibwa ku byowerinda nga palamenti bweyalagira abakulu bano bajje okubaako byebanonyola.
Kino kisomeddwa Rtd. Gen Jeje Odongo.