Skip to content Skip to footer

Musumba yesimbye mu Kadaga

File Photo:Musumba ngaali ne Museveni
File Photo:Musumba ngaali ne Museveni

Ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Proscovia Salam Musumba akkirizza nga bw’agenda okuvuganya sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ku kifo ky’omubaka omukyala.

Musumba olunaku olw’eggulo y’agyeyo empapula z’okwesimba ku Kadaga bangi kyebabadde tebasubira.

Musumba agamba kino akikoze oluvanyuma lw’abawagizi ba Kadaga okumukugira okutuuka mu bifo ebimu nga anonya akalulu nebamukolako n’efujjo kwekugyayo empapula.

Agambye nti talina buzibu bwonna na sipiika era amussamu ekitiibwa wabula ekyamunyizizza bebawagizi be okumutyoboola kale nga basaana okugambibwako bwekiba kisoboka balabe ekyokuzzaako

Leave a comment

0.0/5