Skip to content Skip to footer

Mutabaazi omukubi w’emiggo ayiseemu nga tavuganyiziddwa

File Photo: Mutabaazi nga yogeera nabantu
File Photo: Mutabaazi nga yogeera nabantu

Ssentebe wa disitulikiti ye Lwengo Geoffrey Mutabaazi ayisemu buterevu nga tavuganyiziddwa oluvanyuma lw’abadde amuvuganya okubigyamu enta.

David Bbaale nga yamegebwa  Mutabaazi mu kamyufu ka NRM y’abadde amwesimbyeko nga atalina kibiina wabula asazewo okumulekera .

 

Bbaale okubivaamu kiddiridde enteseganya ne ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba eyabadde e Lwengo nga pulezidenti Museveni anonya akalulu.