Skip to content Skip to footer

Ababaka bawoozebwe

Balwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga basanyukidde ekiragiro kya kkooti  eky’okuggya omusolo ku nsako y’ababaka ba palamenti.

File photo: Ababaka ba Palimenti
File photo: Ababaka ba Palimenti

Olunaku olweggulo omulamuzi wa kkooti y’ebyobusuubuzi Henry Peter Adonyo y’akkirizza empaaba ya Francis Byamugisha  ababaka bano bagibweko omusolo ku nsako yaabwe okuviira ddala mu mwaka gwa 2004.

 

Kati omukwanaganya w’ekibiina ekilwanyisa obuli bwenguzi ekya anti-corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agamba kino kilungi ddala kubanga buvunanyizibwa bwabuli munnayuganda okusasula emisolo.

 

Wabula agamba ababaka bano bandisala amagezi okweyongeza ensako okulaba nga emisolo gino tegibagasa.

Leave a comment

0.0/5