Bya Shamim Nateebwa
Akulira d’aawa mu Uganda era nga yemwogezi w’obusiraamu e kibuli Sheikh Nuhu Muzaata Batte asabye obwakabaka bwabuganda okwongera amanyi mukusomesa abantu ku nsonga ezikwata ku ntekateeka ya kyapa mu ngalo gyebayanjula gyebuvuddeko.
Muzaata ategezazza nti abantu bangi enkola eno tebanagitegeera bulungi nga betaaga kusomesebwa bajitegere , okusinga okuvayo okuvumirira abantu abagezezzako okunyonyola enkola eno.
Mungeri yemu Muzaata asabye Mengo obutazibikiriza misoso gyebalina ku muntu afuna liizi ku ttaka era basaanye okubeera aberufu naddala ensimbi zebagya ku Muntu aba akozesezza ekyapa kya Buganda okwewola ssente mu banka.
