Skip to content Skip to footer

Nakalema alabudde abamalwaliro g’obwannanyini

Bya Ivan Ssenabulya

Ssentebbe wakakiiko akaweebwa omulimu gwokuwalwanyisa enguzi nga kasibuka mu maka gobwa pulezidenti alabudde amamalwaliro gobwabananyini ku bisale ebisukiridde byebasaba abantu olw’obujanjabi bwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Lt Col Edith Nakalema agambye nti bafunye okwemulugunya kwa mirundi 496 okuva mu bantu abenjawulo ku bisale ebibasabibwa nti birimu obukuusa.

Asabye abali mu mulimu gwobusawo okudda ku nono n’empisa ezibafuga, bakole nnyo okutaasa obulamu ssi kukola ssente.

Nakalema abadde mu lukiiko olwokwebuuza, olwabakwatibwako ensonga olutudde ku wofiisi ya Ssabaminisita we’gwanga.

Leave a comment

0.0/5