Skip to content Skip to footer

Abafa ssenyiga omukambwe bayimiridde ku 40%

Bya Ivan Ssenabulya

Akakiiko akakola ku nsonga z’obwenkanya mu gwanga, Equal Opportunities Commission kalaze obwetaavu eri abatekesa mu nkola ebiragiro ku ssenyiga omukambwe okubizza mu nnimi ezenjawulo, abanatu okusobola okubitegeera.

Ssentebbe wakakiiko omugya Hajat Sofia Nalule Juuko agambye nti kino kyakowngera okumanyisa abantu bategeere ekyokukola kubanga ssi buli muntu ategeera olunegereza noluganda.

Ono abadde ku Morning @NTV, nagamba nti era akakaiiko kawabudde gavumenti nti obukulembeze bwazi disitulikiti tebabaleka mabega naye betabe mu ntekateeka zokuzuula abantu abali obubi abetaaga obuyambi bwa gavumenti.

Bino webijidde, ngolukiiko oluvunayizbwa ku kulwanyisa ssenyiga omukambwe lliko ebibinja byabantu 7, bebanokoddeyo abagenda okuganyulwa mu buyambi bwa ssente okuva mu gavumenti.

Kuno kuliko aba saluuni, abantu abaali battikka n’okuttikula emigugu, abagoba ba taxi, abagoba ba boda boda neba maama ba nakyeyombekedde abalera abaana kulwabwe.

Abalala kuliko abavubuka abawangaliira mu migotteko, abaali bakola mmere ya leero.

Mungeri yeemu, ebibalo kungeri abanatu gyebafaamu ssenyiga omukambwe mu Uganda biyimiridde ku 40% era byebibalo ebyawamu munsi yonna.

Kino kibikuddwa akulira ebyobujanjabi mu mu minisitule yebyobulamu mu Dr. Henry Mwebesa ngagambye nti ku buli balwadde 10 bebatwala amu waada zabayi oba Intensive Care Unit, 4 bafa ekirwadde kya COVID-19.

Dr Mwebesa kino akinenyezza ku bujanjabi obukyamu bwebafuna mu kusooka n’okulemera awaka nabamu nebagenda mu bulwaliro obutali ku mutindo.

Bano agamba nti bagenda okutuuka mu ICU nga kikerezi, amawugge gakoseddwa nnyo.

Ono abadde ku NB amakya ga leero.

Ebibalo biraga nti abantu 714, bebakafa COVID-19, atenga abantu emitwalo 7 mu 3,400 bebalwadde ate emitwalo 5 nokusoba bebakawona.

Leave a comment

0.0/5