Bya Prosy Kisakye
Minister owabavubuka nabaana Owek. Florence Nakiwala Kiyingi asabye abazadde, obutawagira ntekateeka ezokukozesa abaana baabwe ssente, nga balina kubakumira mu masomero.
Nakiwala wabula agamba nti ensibuko yembeera eno bwebwavu mu maka, ngabazadde balina okukola ennyo okubulwanyisa basomese abaana, ssi baana kubakolerere ku myaka emito.
Bino abyesigamizza ku mwana omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyiddwa nga Fresh Kid alabirira bazadde be.