Bya Gertrude Mutyaba
Waliwo namukadde owemyaka 80 atemuddwa ba kijambiya mu district ye.
Omugenzi ye Prisca Namatovu omutuuze ku kyalo Busowe mu gombolola ye Kirumba.
Kigambibwa nti yalumbiddwa ne muzzukulu we ategerekeseeko erya Kizza nga kati yye ajanjabibwa mu ddwaliro e Masaka.
Omuddumizi wa poliisi e Kyotera Musa Kayongo akakasizza obulumbaganyi buno.
Poliisi egamba nti okunonyereza kutandise.