Skip to content Skip to footer

Nantaba ayimirizza ab’amasanyalaze

Nantaba

Minister omubeezi ow’ebyettaka  Aida Nantaba ayimirizza eby’okugoba abatuuze ku ttaka lye Kayunga  awagenda okuzimbibwa ebbibiro ly’amasanyalaze E Isimba.

Kino kiddiridde kkampuni  eyapatanibwa okukola omulimu guno okulagira abatuuze okwamuka ettaka lino yadde nga ebadde tennabaliyirira.

Nantaba agamba abatuuze bagende maaso n’okulima okutuusa nga baliyiriddwa.

Agamba yasisinkanyemu dda aba kampuni eno eya  china international water and electric cooperation nebakkiriza okuyimiriza okusengula abantu bano.

Leave a comment

0.0/5