Bya samuel Ssebuliba.
Kooti ey’omukago gwa East Africa kyadaaki etyemudde omusango ogwawabwa eyali speaker wa palamenti eno omukyala Nantongo ziwa nnga ono yali awakanya kyokumujja kubwa speaker olw’empaka.
kooti ekikakasizza nti eky’okujja Ziwa mubuyinza kyakolebwa mubukyamu, kale nga alina okusasulwa obukadde bw’ensimbi za uganda 1200.
Bwabadde ayogera ku nsala ya kooti eno, Zziwa agambye nti kino kyongedde oku zza obwesige bw’abantu eri kooti eno.
Kinajukirwa nti omukyala ono yagiibwa kubwa speaker mu 2015 nga yakamalako emyaka esatu gyokka nga ababaka baamulanga kukozesa bubi offisiye.