Bya Rita Kemigisa,
Nnabambula womuliro ogukutte warehouse omuterekebwa eddagala eya Joint Medical Stores (JMS) gulesse ebintu byabuwumbi 7 bitokomose.
Akulira JMS Dr Bildard Baguma atubuulidde nti ebintu ebisanyewo kuliko ebikozesebwa mu byokuzaala ebibanje byomumalwaliro omuli ne bitanda okutekebwa abayi enyo ne bintu ebirala
Wabula asabye obukakamu okubaawo mu bannauganda ababadde batandise okubitebya nti eddagala lyonna liyidde eggwanga lyolekedde akabaate
Baguma,abagamba nti si bakukosebwa nyo kuba warehouse eyidde ntono nyo kuzebalina mu ggwanga
Anyonyodde nti omuliro guno gwandiba gwavudde ku buliro obumansuka okuva mu bokya wolding ku muliraano