Bya Samuel Ssebuliba
Ekibiina kya NRM kiwolerezza omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Rebecca Kadaga olwokukubiriza palamenti negenda mu maaso awatabadde, aboludda oluvuganya gavumenti.
Olunnaku olwe ggulo palalmenti, yagenze mu maaso oluvanyuma lwabavuganya gavumenti okuzira, nga bawakanye ekya banaabwe abakangavvulwa.
Bwabadde ayogerako naffe, ssabwandiisi wa NRM, Richard Todwong agambye nti spiika talina teeka lyonna lyeyamenye.
Kinajjukirwa nti aboludda oluvuganya gavumenti bekanadagga nebafuluma palamenti ku Lwokusattu, oluvanyuma lwa spiika okugoba abasing ku banaabwe olwakavyvybgano akaliwo.