Bya Ruth Anderah
Ekitongole ekikola ogw’okutereka ensimbi z’abakozi eya NSSF , kigumizza abatereke ensimbi mu kitavvu kino nga bwebatagwana kutya, kubanga etaka lyebaagula e Temangalo teririiko nkayana.
Bino byogedde akulira ekitongole kino Richard Byarugaba bwabadde alabiseeko eri akakiiko akakola ku by’etaka okw’enyonyolako kubigambibwa nti etaka lyebaaguka lyali ly’abayindi, era nga bano kakano baagala taka lyabawe.
Bino okuvaayo kidiridde Family y’abayindi okukalambira nga erumiriza nga bwerina ekyapa ky’etaka lino eriweza acre 366 , nga kuno balinako lease, era nga kwebaali balimira amajaani nga Idi Amin tanagoba bayindi mu mwaka 1972.
Ono agambye nti ekyapa kyebalina ky’ekituufu, era nga etaka baaligula mumakubo matuufu okuva ku Amos Nzeyi.
Abayindi abakaayanira etaka lino bagamba nti baafuna liizi ya myaka 79 mu mwaka 1944, okuva ku Daniel Mugwanya Kato, kale nga kino kitegeeza nti etaka lino likyali lyabwe- NSSF bagifera.