Bya Shamiem Nateebwa ne Ivan Ssenabulya
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye abantu okusanga ekitiibwa mu buwnagwa bwabwe ne nono.
Mu kino agambye nti lwebanazimba amaka aganywedde obulungi nebitundu okukulakulana.
Bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda amakya ga leero, Owembuga avumiridde abadibya enono, ngezigobererwa mu kuziika, nga babiyita ebya Lubaale, nti bakyamu.
Ayambalidde abavumirira embugo nebiralala nagamba nti ono ssi sitaani, naye ze nnono era ebyafaayo bya Buganda.
Kati awnao agambye nti nobumu yalinga mbagi, eyagatanga abantu, akelnga bino abantu byebatasaanyekusuula.
Mungeri yeemu Kamala byonna, alabudde abantu ba Ssabasajja okubeernga abegendereza, naddala ku nkozesa yemikutu muyunga bantu.
Agamba nti emikutu gino ensangi zino jikozesebwa bubi nga waliwo abenonyeza ebyabwe, okutatattana amannya gabaana ba Kituntu.
Alabudde naddala abavubuka, obutawubisibwa olwebikyamu ebisasanyizibwa.