Skip to content Skip to footer

Obusisiira bukutte omuliro

huts burnt

Mu disitulikiti ye Pallisa abaayo bali mu miranga oluvanyuma lw’omuliro omuliro okusaanyawo  obusiisira bw’abatuuze 9.

Abatuuze balumiriza nanayini ssomero lya Teso Primaru School okugula amayembe okufuna abaana mu ssomero lye nga era bagalumiriza  okubookyera enyumba zaabwe nga era obusiisira obusoba mu 10 bwebwakookyebwa.

Micheal Odongo nga ye mwogezi wa poliisi mu bitundu bino agamba ennyumba zizze zikwata omuliro mungeri etategerekeka naddala mu bitundu nga  Omogho, Kakeki, Oinomo n’ewalala.

Ono asabye abatuuze okusigala nga bakkakamu nga bwebakyagenda maaso n’okunonyereza.

Leave a comment

0.0/5