Bya samuel ssebuliba.
Police wano e Karamoja ategeezeza nga bweweze obutale bwente mu bitundu bino, nga kino kigenderedwamu kulwayisa abanyaga ebisolo mu bitundu bino.
Twogedeko n’omubaka wa president mu kitundu kino Samuel Mpimbaza Ashaka mu Abim District n’agamba nti abalunzi abava mu Kenya baludde nga banyaga ente zaba karamoja, kale nga waliwo okutya nti bayinza okuzitunda mu butale buno.
Ono agamba nti mu kaseera kano mpaawo akirizibwa kutunda nte mubutale buno okutuusa nga ensonga zino ziwedde.