Bya Steven Ariong
Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Nakapiripirit district mu bitndu ye Karamoja kawefube waabwe ow’okulwanyisa omusujja gw’ensiri yandigwa butaka olw’abatuuze butamanya mugaso gwabutimba bw’ensiri .
Abatuuze bano obutimba obwabaweebwa okwebikka bawone okulumibwa ensiri ezireeta omusujja kati babukozesa kukwata nswa.
Omuze guno guli nyo mu magombolola okuli Nabilatuk, Lolachat, ne Loregae nga era osanga obutimba obupya bubikiddwa ku biswa waggulu .
Omu ku maama akozesa obutimba buno okukwata enswa Sarah Nakut atutegezezza nti okukozesa akatimba kano essaawa emu yokka gyebakakozesa okukwata enswa tekiyinza kubakozsa kubanga olumaliriza bakooza bulungi nyo nebaddemu nebakebikka.
Agamba atega ogumu taliira nti era akatimba kano babayambye nyo kubanga bakebikka okwetaasa ku nsiri ate mwanawattu nekabayamba n’okutega ensawa.
Akulira eby’obulamu ku disitulikiti ye Nakapirpirit Dr.John Anguzu akaksizza kino n’ategeeza nti abantuuze bano kino kibaviirideko okwonera okulwana omusujja gw’ensiri.