Bya Shamim Nateebwa.
Katikkiro wa Buganda Owek. atenderezza omugenzi Livingston Nkoyoyo , nga ono amwogedeko nga alese omukululo mukwafu mu byediini,obwakabaka,kko nenkulakulana.
Mububakabwe, katikiro agambye nti ono bweyali e Mukono ng’Omulabirizi yakola ebintu bingi, mu kaweefube wokuzimba Church House yateekamu nyo amaanyi okulaba nga eggwa newankubadde afudde tenaggwa.
Ono amutenderezza olw’okuwoma omutwe mukuzimba ekuumiro ly’ebyafaayo e Namugongo mu Bakulisitaayo, kyagambye nti kino kigenda kusigala mu byafaayo.
Katikiro agambye nti ”omukulu ono olw’okuba obuwereeza bwe bubaddemu ebibala,tetujja kukaaba ng’abatalina ssuubi kubanga Katonda amukozeseza ebirungi bingi era tumwebaza nti yamusobozesa okukola ebintu ebyo”.