Bya Ben Jumbe.
Omukulembeze we gwanga lino Yoweri Museveni awabudde abavubuuka mu gwanga okwewalira ddala ebibinja ebikyamu ebiyinza okubawaga okwetaba mubuzzi bw’emisango
Pulezident okwogera bino abadde ayogerako eri abavubuuka abawereredde ddala 800 okuva mu mambambuka ga Ankole abetabye mulukugaana lw’eddini olwenakku 3 ku somero elya Kaaro High School e Nshwerenkye Kiruhuura district .
President agamba nti abavubuuka betaaga okuwabulwa okubatangiira okukoola ensobi, nga okumanya okutya mukama ,okwagala okusoma,okugondera abazadde babwe wamu nebirara.