Bya Samuel Ssebuliba.
Sipiika wa Palamenti omukyala Rebecca Alitwala Kadaga atabukidde basentebe b’obukiiko bwa palament nga agamba nti bano beeyitirize nebatandika okugenda nga basabairiza ensimbi ez’okudukanya obukiiko okuva mu bagabirizi b’obuyambi, songa zino akakiiko aka parliamentary commission kazibawa.
Speaker agamba nti akitegedeko nti waliwo ba sentebe b’obukiiko abeefude ba segwanga, bagenda bategeeza abantu nga bwebatalina nsimbi zakukola mirimo gyabwe, songa bamanyi n’okutegeeza abantu nga bwebakoze okusalawo,kyoka nga tebakwesigamizza ku palamenti.
Kati ono agambye nti agenda kutwala akadde awayeemu ne basentebe bano bakanye ku nsonga zino